Ekitabo kigenderera okuziba omuwaatwa oguli mu bintu ebiwandiikibwa ku Nnabbi Muhammadi nga kijjayo oludda olulala mu bulamu bwe nga kwe kusaasira kwe okwo abawandiisi kwe batera okulagajjalira. Okusaasira kuno okw’enjawulo kwe kwetooloolera obulamu bwe bwonna. Ekitabo kiraga nti ekifaananyi kya Nnabbi kyetaagisa nnyo naddala mu biseera bino, ne kiyamba okujjumbiza okusaasira mu nkolagana zaffe ez’obuntu n’engeri gye tulina okweyisaamu n’ebintu ebitwetoolodde. Era kiraga nti, ettutumu lya Nnabbi Muhammadi liva mu kubeera nti ye yaleeta emisingi gy’empisa ezisinga obulungi mu buli ludda lw’oba otunuulidde.