Luganda Books

Muhammadi Omubaka Wa Allah

Ekitabo kino kigenderera okusobozesa abakisoma okukwata ekkubo lya Nnabbi n’okuwangaalira ku bulunngamu bwe. Kiraga okusaasira Nnabbi kwe yalina eri abantu n’ebitonde ebirala, wadde nga Allah yamutuma gye bali mu biseera ebyali bisinga okubeera ebyakazigizigi, ebizibu era eby’omutawaana. Omuwandiisi alaga embeera za Nnabbi n’enneeyisa ebyaleeta emirembe n’obutebenkevu mu mawanga, ne bifuula abantu ab’emitima emikakanyavu abagonvu, abalongoofu era abawa eky’okulabirako eri abalala. Okumanya eby’okulabirako bya Nnabbi ebirungi kiyamba omusomi okumwagala nga lye kkubo eriyinza okumusobozesa okumugoberera olwo n’afuna okusiima wamu n’okwagalwa okuva eri Allah.

READ- DOWNLOAD (PDF)